Wednesday, December 21, 2011

HOW DOES THE CATHOLIC FATHER GET CHARGED FOR KILLING A POLICE OFFICER WHEN HE WAS NOT DRIVING


At time we hear that people are charged for crimes they did not commit. How come the Catholic Father is being charged for killing a Police officer when he was not the one driving the car?
Kituuka
Faaza agambibwa okutomera owapoliisi bamusibye

Dec 21, 2011
|
Share
|
|
|
|
|
Big font Small font
|


clipBya Ben Ssentongo

OMUSOSODOOTI poliisi gwe yakutte ng’emuteebereza okuba nga ye yabadde avuga mmotoka eyasse owapoliisi ku mugga Katonga ku lw’e Masaka, asimbiddwa mu kkooti emusindise mu kkomera ly’abasibe e Buwama.

Faaza Claudio Ssegonja ow’ekigo ky’ e Bwaise mu Kampala yasimbiddwa mu kkooti y’omulamuzi Noah Muwonge e Buwama n’asomerwa emisango ebiri okuli ogw’okuvugisa ekimama wamu n’ogw’okutta omuntu.

Omulamuzi eyasomedde Faaza omusango wa ddaala lyakubiri era n’ategeeza nti omusango guno gumusukkulumyeko nga gubadde gulina kuwulirwa mulamuzi wa ddaala erisooka abadde agenze ku mirimu emirala era bw’atyo n’amujuliza kutwalibwa mu kkomera ly’abasibe e Buwama okutuuka ku lunaku oluddako.

Bannaddiini wamu n’abenganda za faaza ono baakedde kugumba ku poliisi y’e Buwama okumanya ebisingawo ku faaza okutuuka ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo ofiisa wa poliisi akebera ebidduka w’atuukidde ne yeekebejja mmotoka ya Ipsum eyakoze akabenje era n’akola ebbaluwa etwala faaza mu kkooti.

Abantu baabulijjo abeeyiye ku poliisi era beeyongeddeko mu kkooti faaza gye yatwaliddwa.

Faaza Ssegonja newankubadde takkiriziddwa kubaako ky’ayogera mu kkooti olw’obunene bw’omusango gwe, bw’afulumye ebweru wa kkooti ategeezezza nti emisango egyamusomeddwa tagimanyi kubanga ssi ye yabadde avuga mmotoka.

No comments:

Post a Comment